Bobi Wine - Akalimu Lyrics

Lyrics Akalimu - Bobi Wine



Intro
Everybody want to go to heaven but nobody want to die.
Just like everybody want to become rich
But nobody ready fi work hard fi it.
All de ghetto youths dem dream of a job
Where dem put on suit and tie
And sit in front of a computer
But watch this man and listen to the secret.
Mbula nyo kubammatira
Nebeebuuza omusada alikuki
Nga Naye guno ogwokukuba emiziki
Ntera nenguta nenkol'emirala
Omanyi emirimu gy'ekibuga
Otega wano noteg'ewalala
Nze nakwatako n'ensenene
Nga kyali wa ndausi anzalawa,
Abaali batuyita abadongo luli,
Kati tubayitako tunyoola nkata.
Laba Kati naawe yagala omulimu gwokola eyo YE office yo!
Bwoba okola manya kyokol'ekyo yegwe
Teriiyo mulimu mubi
Kasit'ogulongosa noguyonjayonja
Teriiyo mulimu mubi
Bwob'okola manya kyokol'ekyo yegwe
Teriiyo mulimu mubi
Ku job yo naawe w'ozimbil'ensi
Teriiyo mulimu mubi
Nze nakyalako ewa Kirumira lumu ewuwe
Lwe yagulaw'enyumba
Kwolwo nze lwenafuna evidence
Nti Abantu balin'ensimbi.
Nze nalina amalala,
Ngera manyi namala nay'atte byenalaba,
Byebyamala okuloba!
Konze degree wasoma mekka? Koye, saasoma kugenda wala.
Konze obugagga wabuzuula wa? Koye, mumirimu gyemuzalawa.
Genda obuuze kubansingako
Abagagga bomukibuga Kampala
Abamu basooka mubutembeyi
Abalala baatunda kabalagala.
Buli job eba yakabi kasita agitwaala ngeyakabi
Atte n'omwaavu aly'omu
Omuntu azalaw'emirimu,
Bano banze sivuga booda,
Abeewola nebayizika.
Kale bwob'olina wokolera,
Watwale nga ekyatika,
Fuba omanye nti akalimu ako
Ye maama era ye taata wo.
Bwoba okola manya kyokol'ekyo yegwe
Teriiyo mulimu mubi
Kasit'ogulongosa noguyonjayonja
Teriiyo mulimu mubi
Bwob'okola manya kyokol'ekyo yegwe
Teriiyo mulimu mubi
Ku job yo naawe w'ozimbil'ensi
Teriiyo mulimu mubi
Abagyerezi Leka bagyerege
Aboogezi Leka bagyegere
; Member when the cock crows
It dont mean it sick!
It means it's time to wake up!!
Seeeeeen!
Kati njagala angyerega angyerege
Nga Naye afunye byensomesa.
Bwoba kumulimu Oli nebwagyerega,
Tomufaako y'abeera ffala,
Ekifo kyolina Ku job yo,
YE office yo, YE ministry yo.
Saamu ekitiibwa mubosingako
Atte totunula musowani ya boss wo! Lawyer yamanyi bwatetenkanya
Ne porter yamanya bwamalako!
Gwe Totunulira gyenkolera wabula tunuulira kyofunayo.
N'enkoko gyonolya totunuulira gyeridde!
Makalena kabalagala atunda abaana be naweererera
Kati Gwe bwodda mu pokopoko
Ngabulikyenfuna okyogerako,
Obudde bukukeddeko eyo yenkoko ekookolima.
(Differed)
Nze bwemba nkola nkola manyi nti kyekyo
Teriiyo mulimu mubi
Ku job yange nange wenzibir'ensi
Teriiyo mulimu mubi
Gwe bwoobokola kola ngolina eswagga atte.
Ku job yo naawe w'ozimbil'ensi
Teriiyo mulimu mubi
.Abagyerezi Leka bagyerege
Teliiyo mulimu mubi
Buli mulimu bulyomu ayamba munne
Teriiyo mukulu mubi.
Aboogezi Leka bagyegere
Teriiyo mulimu mubi
Bulyomu ayamba Munne!
Teriiyo mulimu mubi
...Tony Hauls gyebale...
Teriiyo mulimu mubi!...
Teriiyo mulimu mubi in the background



Writer(s): Bobi Wine


Bobi Wine - Akalimu
Album Akalimu
date of release
20-05-2016




Attention! Feel free to leave feedback.