Eddy Kenzo - Bikyuuka paroles de chanson

paroles de chanson Bikyuuka - Eddy Kenzo



Bw'eriba ekyuuse
Oliyimba oluyimba (sure)
Oh le le
Oh le le
Hullo hullo hullo Namu
Hullo
Yenze Mbaaya gwe wali omanyi
Okuva ewa Muzeeyi Mupambanyi
Eyatundanga bu namungodi
Do you remember me?
Yenze, kiki ng'olabika wesise?
Manyi nakyukamu
Nagejjamu ate ne mpanvuwamu
Mukama yampaamu
Ne nfunamu weebale kusaba
Eyo Range Rover gy'olaba nno yange
Ssi ya Bobi
Ne ka print ako k'olaba kange
Tokayita Barbie
Manyi bazadde bo
Nakukimako ewammwe bangobesa emiggo
Ne banvuma obwa lucoolo, kyannuma
Ne bannangira obwavu
Ssi kirungi kunyooma ah
Ensi eno ya Katonda
Ebintu by'ensi bikyuka ah
Bw'okasuula nze nkalonda
Ssi kirungi kunyooma ah
Ensi eno ya Katonda
Ebintu by'ensi bikyuka ah
Bw'okasuula nze nkalonda akasima
Omukwano ssi siringi
N'obwavu tebusiiwa ssi bulwadde
Nali nkwagadde
Ng'omutima ngukuwadde
Ebyaddala, nali nkwagala nga byaddala
Lwakuba saalina
Kyannuma Namu okunsuba
Mungu ne musaba oba olyawo alinsitula
Kati nafuna gwe nina
N'obuswazzi obutono
Yenze oyo gw'owulira
Owa Arcade ne zi kalina Mbaaya
Omuntu yenna ali eyo
Ng'oli eyo baako ky'oyiga
Ebintu by'ensi ekyuka
Ekyuka ebibimba bikka
Ku judginga ku judginga
Eyo y'emu kw'ezo ensonga
Ze twandirekedde Katonda
Kuba y'amanyi ebisinga
Bw'oba otegedde ensonga eno
Kyusa mw'ezo embeera zo
N'abaddako olibagamba
Mutonzi yasinga okumanya
Ojudginga ojudginga (Oh le le)
Lwaki mutujudginga?
Ojudginga ojudginga
Lwaki mutujudginga?
Buta Magical
Ojudginga
Banq Records
Ojudginga
Oh yeah
Lwaki mutujudginga?
Buta Magical, yeah
Ojudginga
Bad Kenzo yeah



Writer(s): Edrisah Kenzo Musuuza


Eddy Kenzo - Bikyuuka
Album Bikyuuka
date de sortie
20-08-2019





Attention! N'hésitez pas à laisser des commentaires.