David Lutalo - Kwasa Lyrics

Lyrics Kwasa - David Lutalo



I
Kwasa... ohhh... Kwasa
Ngenda kwagala oba yalabana
Togende kwejusa ahh silikwepena
Bano abakubaganya embira, mmm silibira
Munange, kinange ngamba nti tonsule
You're my life, my wife, njagala nnyo kirimange
Kati onsesa busekko, bano abawala abalala gguma
Balinga ontokosakosa buddo, ombabula obabula muliro
Nebwoli tankuula emisege, lavu yo telinzigwa ku mmeme
Ensi n'ebwezimbwa ensekere, osala kaweke n'ofuna munyerere
Nesunzee... ohhh... Kwasa
Olwaleero lwange bebi, ohhh... Kwasa
Jangu eno okyezze nange, ohhh... Kwasa
W'onyenyamu nfuna eddembe, ohhh... Kwasa
Nesunzee... ohhh... Kwasa
Olwaleero lwange bebi, ohhh... Kwasa
Jangu eno okyezze nange, ohhh... Kwasa
Onyenyamu nfuna eddembe, ohhh... Kwasa
II
Njagala tusinge ku bali abatusoka
Omukwano tugule nga kyoya ku nswa
Gwe weka anateera omunyo mu nva
Tulire kkamu nga walumye nange we ndya
Nyumirwa enkolayo, mmm kyolaba nfaayo
Silinayo, manyi nkuyina
Sibalaba, abalala balina anakaaba
Let us dance!



Writer(s): David Lutalo


David Lutalo - Kwasa
Album Kwasa
date of release
25-04-2019

1 Kwasa




Attention! Feel free to leave feedback.