Bobi Wine feat. Nubian Li - Osobola paroles de chanson

paroles de chanson Osobola - Bobi Wine



All man
Remember that everything you believe
You can achieve man
Watch this! Eh
Mbalabye bangi mu bulamu abatoba
Abamu ne baggwamu amaanyi ne bakita
Naye leero kambagambe amazima
Bw'olemerako munnange omalako
Kati twasalawo ffe kulumba nalo
Nga twesiga Mukama Katonda
Kubanga ne Dawudi yanyiga Goliyaasi
Nga yesize Mukama Katonda
Wadde ng'embeera ekaaye osobola
Nkusaba toggwamu ssuubi osobola
Manya Mukama waali osobola
Osobola embeera yonna
Eeh wadde ng'entiisa nnyingi osobola
Nga Mukama waali osobola
Kale no toggwamu maanyi osobola
Osobola mu mbeera yonna
Ggulawo amaaso otunule
Kuba bw'ozibiriza ensi yo egenda
Nsonga za ggwanga mujje
Okumanya kwo kwe kuyamba abalala
Ebikunyiga by'ebinnyiga tubikwase maanyi ebyo
Twebereremu tetupowa
Tukyuse embeera eno
Naye nga osobola okukyusa embeera
Wadde nga olowooza otuuse ku kisenge
Osobola okulaba kw'ebyo bye waloota
N'obituukako in your lifetime
Kasita okola n'amaanyi n'olemerako
Ebirala obikwase Katonda
Jjukira abalemerako, be bamalako
Enjogera eyo yaffe kuva dda
Kati ggwe abadde alowooza nti ebintu bya balonde
Leka nkubuuse ate
Naawe abadde amanyi nti ebintu tebisoboka
Example ye ffe
Kati no tebakutiisa
Tebakufiisa
Tebakunyoomanga
Naawe ebintu obiyinza
Abali mu buyinza, tebakukanganga
Wadde nga bajja na bitala bajja na lyanyi
Ffe tuzze na Mukama Katonda
Kuba ne Dawudi eyakuba Goliyaasi
Yakwata bukwasi jjinja
Ffe twava mu Ghetto kulumba nalo
Nga twesize Mukama Katonda
Kubanga ne Dawudi yakuba Goliyaasi
Nga yesize Mukama Katonda
Remember, everything is possible
If only you believe
You can achieve
Hahaha
Abo tebakulimba
Abawoza tolumba
Katonda talimba
Manya ye Defender
Abo tebakulimba
Manya ba pretender
Katonda talimba
Manya ye Defender
Abo tebakulimba
Abawoza tolumba
Katonda talimba
Manya ye Defender
Ne Dawudi yanyiga Goliyaasi
Nga yesize Mukama Katonda



Writer(s): Bobi Wine, Nubian Li


Bobi Wine feat. Nubian Li - Osobola
Album Osobola
date de sortie
28-09-2019




Attention! N'hésitez pas à laisser des commentaires.