Ykee Benda - Kirabo paroles de chanson

paroles de chanson Kirabo - Ykee Benda

Wo yo yo yo yo
Wo yo yo yo yo
Ekirabo kikyo, ooh yeah-yeah
Kraizy Kraizy pon di beat
Hmmm Ykee Ykee pon the scene
Nze ekirabo kye nina, ekirabo kye nina
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka, gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange, leka nkikwatulire
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka, gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange, leka nkikwatulire
Emyaka musanvu
Nga gibadde miwanvu
Nga noonya nno buvumu, mbikugambe mu lwatu
Ebbaluwa kasanvu, ze mpandiise nno mwattu
Zannema okusindika, byonkola muli biwanvu
Byannema okwogera kye nva mbiyimba
N'amaanyi ganzigwa ne bw'olaba nsinda
Neeyogeza misana ttuku ndoota
Nti luliba olwo n'onzaalira n'omusika
Kambiwandiike mbikubire ku guitar
Kye nsaba mukwano, gwe sengejja
Eddoboozi tolitya ssiryerisinga
Ggwe wulira ebyo, byo nno byeriyimba
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka, gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange, leka nkikwatulire
Mpaka Sound dis
Omukwano, omutima guyimba linnya lyo
Omukwano, ne ku bwongo najjuza bifaananyi byo
Omukwano, omukwano gunyuma nnyo ng'emitima gyogereganya
Omukwano, uuh ky'ekirabo kye neetisse
Ekirabo kiikyo
Omukwano guugwo
Baby tofa ku nsabika
Ebigambo sirina bingi
Ekirabo kiikyo
Omukwano guugwo
Nkusaba tofa nsabika
Omukwano nina mungi
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka, gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange, leka nkikwatulire
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekirabo kye natereka, gwe mukwano guno ooh oh
Kansabuukulule, leka nkuwe omukwano guno oh oh
Ekyama kyange, leka nkikwatulire
Kraizy

Writer(s): Ykee Benda

Ykee Benda - Kirabo
Album Kirabo
date de sortie
07-08-2021

Attention! N'hésitez pas à laisser des commentaires.