Jose Chameleon - Basiima Ogenze paroles de chanson

paroles de chanson Basiima Ogenze - Jose Chameleon

Ebirungi tukola amakula geeyoleka gonna
Basiima ogenze
Nebwolikolera eggwanga eribyesiimisa byokka
Basiima ogenze
Banange gwaava wa omuze gw'obutasiima mulamu
Basiima ogenze
Ekyo kyekimalamu amaanyi nemubyenkola byonna
Basiima ogenze
Bwemba sogera mazima ompabula
Njagala kuwabula so si kutabula
Waliwo ensonga enkute ku mutima
Ka njeyogerere sirina gwakutuma
Lwaki omulamu bamunyooma
Newakola ebirungi bamufeebya
Oluusi ba,ulinda kufa ate nebawaana
Songa yabeerangawo nga bamuvuluga
Nalina mukwano gwange Musisi
Ngasamba kapiira acanga kali
Nerweyagenda nalujukira luli
Kyannaku naye kituufu
Ebirungi tukola amakula geeyoleka gonna
Basiima ogenze
Nebwolikolera eggwanga eribyesiimisa byokka
Basiima ogenze
Banange gwaava wa omuze gw'obutasiima mulamu
Basiima ogenze
Ekyo kyekimalamu amaanyi nemubyenkola byonna
Basiima ogenze
Nebwolikola ebirungi ebitapimika
Ng'oli mukwano gwa bangi okira ko malayika
Abasiima nga tebansangika
Oli muzonanye babyoleka
Nawe bwotyo, nange bwentyo, noli bwatyo
Ye mbeera ya dunia abantu b'ensi bo webatyo
Nawe bwotyo, nange bwentyo, noli bwatyo
Tekisangika kusiima mulamu
Ebirungi tukola amakula geeyoleka gonna
Basiima ogenze
Nebwolikolera eggwanga eribyesiimisa byokka
Basiima ogenze
Banange gwaava wa omuze gw'obutasiima mulamu
Basiima ogenze
Ekyo kyekimalamu amaanyi nemubyenkola byonna
Basiima ogenze
Omwoyo gwegwanga lyaffe gwetaaga essaala
Tusiime ku baliwo nga tukyalina akaseera
Osiima agenze kumala biseera
Nanti ne bwemusiima abeera ye tabiwulira
Nawe bwotyo, nange bwentyo, noli bwatyo
Ye mbeera ya dunia abantu b'ensi bo webatyo
Nawe bwotyo, nange bwentyo, noli bwatyo
Basiima ogenze
Ebirungi tukola amakula geeyoleka gonna
Basiima ogenze
Nebwolikolera eggwanga eribyesiimisa byokka
Basiima ogenze
Banange gwaava wa omuze gw'obutasiima mulamu
Basiima ogenze
Ekyo kyekimalamu amaanyi nemubyenkola byonna
Basiima ogenze
Enguudo z'omu Kampala okutuma erinnya lyo
Ssebo omala kugenda
Basiima ogenze
N'okumuyita omuyimbi omulungi
Kafeero yamala kugenda
Basiima ogenze
Bongole Lutaaya olwamuzza e Gomba
Ebitiibwa netumuyiira
Basiima ogenze
Togeza nodd'ebbali Seruganda nawe bwotyo
Basiima ogenze
Wanadam.Wanadam.Wanadamu
Basiima ogenze
Wanadam.Wanadam.Wanadamu
Basiima ogenze
Wanadam.Wanadam.Wanadamu
Basiima ogenze
Wanadam.Wanadam.Wanadamu
Basiima ogenze
BASIIMA OGENZE

Writer(s): Jose Chameleon

Jose Chameleon - Samwa Samwa
Album Samwa Samwa
date de sortie
23-03-2015

Attention! N'hésitez pas à laisser des commentaires.