Bobi Wine - Byekwaaso Lyrics

Lyrics Byekwaaso - Bobi Wine



Life is life and every man live it Inna him own way
But the best way to live life is to live with the truth in your heart
But if you stand for the truth you better be ready to stand alone
I say
If you stand for the truth you
Better be ready to stand alone, Gimmie yo
Ewaffe gyenakulira ekanoni wabangayo omussajja erinanga sente enkumu
Byekwaso yali wakabi mu kanoni nga lwalabikako ayita wamu ne Philly
Naye, Ekyewuunyisa Ku sente zeyali alina
Byekwaso yali tapowa mu city
Nga n'oluusi ba Philly bwe bajjanga nga
Yabakwata Ku mukono n'abaleeta KO mu ghetto
Era nze okuva my buto nayagala nnyo bwenkula mbe nga byekwaso
Olumu nze namusalako nemwebuzisa nti okikola otya byekwacho
Yangamba bw'olikula obeere nga nze
Sente zoli funa zireme kufuula muntu mulala
Obeeranga mwesimbu ebikyamu obigana
Ebituufu by'oba osomesanga abalala
I know that the truth truth will be a lonely road
Olemerangako n'olwaniranga amazima
Buli let'oyimirira kumazima oyimiriranga bw'omu
Never ever expect nobody to defend you
Baagala nnyo okugenda mu ggulu naye tebaagala kufa
Baagala nnyo okugagawala naye tebaagala kutuyana
Sente twagala
Why'obugagga twagala naye Teri kisobola kugula mwoyo
Bikyamu bikolwa
Buli lunaku tubiraba naye okubyogera kubeera nga kumira mwoyo
Nze kyenvudde nsalawo mbesonyiwe
Byenjagala okukyusa kambyekyusize
Oba kugogola mwala oba luzzi kandwezimbire
Byenjagala okusomesa abaana kambyesomeseze, ayi
Nze kinnuma engoye okuzigyanga e China
Nga tulima pamba, tuzaala ne ba designer
Singa twali twazimba oil refinery
Tetwandivunamidde mbeera za ba foreigner
Wabula oli buli bwakufuula begger
Ajja ne mumakago nakukolera amateeka
Twagala nnyo okugenda mu ggulu naye tebaagala kufa
Twagala nnyo okugagawala naye tebaagala kutuyana
Kati nze nva waggulu nga mbagamba
Nti ebyensi ebimu byo byagonda
Bw'oba me ky'okiririzamu okiyimirirangako bwomu nga bw'oli gwe
Era bw'otankulanga olutalo nga wesize mikwano gyo mba nkusaasidde
Be bamu abakujubisa ate nebakulabisa
Katinno osana obegendereze
Kati amazima ga mutima gwo mpozzi na mwana wo
Era mzeyi yangambye
Labirira family yo omukyaala na baana bo
Manyi nti bangi abakuwagira
But if you stand for the truth you be ready to stand alone, my song
But if you stand for the truth you be
Ready to stand alone, ayaga yaga yagayooh
Baagala nnyo okugenda mu ggulu naye tebaagala kufa, be bantu baffe
Baagala nnyo okugagawala naye tebaagala kutuyana



Writer(s): Bobi Wine


Bobi Wine - Uganda
Album Uganda
date of release
09-06-2019




Attention! Feel free to leave feedback.