Bobi Wine - Sukali Keko paroles de chanson

paroles de chanson Sukali Keko - Bobi Wine



Ky'ekyo
Speed y'eyo
Amaanyi geego
Ky'ekyo
Twabitandika mpola mu ntandikwa
Ng'obulamu bwa mbirigo
Ye ng'oyogera otya nti nva mu Ghetto
Gwe n'oyitwa omuntu?
Kye twava twesowolayo ne tweyogerako
Ng'obulumi bwa nsusso
Abantu baakubwa, baasibwa
N'abandi battibwa
Naye tetwapowa, twaguma
Ne tuggusa ensonga
Bwe njogera nti ono ayogera
Ndowooza kati ogirabye ensonga
Sukaali keeko?
Nze simanyi oba tukongeremu? eeh
Speed y'eyo?
Nze simanyi oba tugyongeremu? eeh
Sukaali keeko?
Nze simanyi oba tukongeremu? eeh
Amaanyi geego?
Nze simanyi oba tugongeremu? eeh
Lwaki kale omukulu
Talaba ebiri mu ggwanga okutucankalanya?
Lwaki kale omukulu
Takola nga bano abaata entebe mu ddembe?
Nze ŋŋamba omukulu agenda
Wadde nga yeekaza alimba
Oyo nze mumanyi entunula
Omukulu atidde agenda
Eyali yanzalawa wuuyo mpolampola ng'atandise okuyeba
Ago ge maanyi g'abantu
Gwe ali eyo yongeza omuliro
Olaba n'abaali tebakkiriza
Baamala nabo ne bakkiriza!
Kaakati ow'ekikoofiira
Atya gwe ow'akakoofiira!
Sukaali keeko?
Nze simanyi oba tukongeremu? eeh
Speed y'eyo?
Nze simanyi oba tugyongeremu? eeh
Sukaali keeko?
Nze simanyi oba tukongeremu? eeh
Amaanyi geego?
Nze simanyi oba tugongeremu? eeh
Endongo ngikubye ekimala
Kaakati twogere ku nsonga
Omubanda omulabye ekimala
Kaakati kambawe Kyagulanyi
Abaana ba zi bodaboda speed eri etya? eeh
Abaana b'ewa Kisekka sukaali ali atya? eeh
Aba zi University
N'abaana ba Ghetto
Ab'e Kyaddondo
N'abomubyalo, eeh
Aboomu Diaspora munyweze ekintu, eeh
Abakyala kiri kitya? eeh
Ka sukaali tukongeremu? eeh
Sukaali keeko?
Nze simanyi oba tukongeremu? eeh
Speed y'eyo?
Nze simanyi oba tugyongeremu? eeh
Sukaali keeko?
Nze simanyi oba tukongeremu? eeh
Amaanyi geego?
Nze simanyi oba tugongeremu? eeh



Writer(s): Ibrahim Buwembo


Bobi Wine - Sukali Keko
Album Sukali Keko
date de sortie
04-11-2019




Attention! N'hésitez pas à laisser des commentaires.